Top Banner
EMBEERA Z’ABANTU Omuko 19 | Lwakuna 12 Muzigo / May - Lwakusatu 18, Muzigo / May 2011 GGWANGA Wunno Mwoyogwaggwanga atalaze amawanga 192 Event photography wedding introduction commercial studio photography communication design conceptual development graphics design advertising P.O. Box 72276 Kampala - Uganda, Plot 27 Sir Apollo Kagwa Road opposite Global Trust Bank , Tel: 0701884320 www.lavishmediaug.com Bya Alex Lubwama J ames Berisha musajja nzaalwa ya ggwanga lya Kosovo,yazaalibwa mu kitundu kye Brestovc, Ko- sovo mu 1972.Kitaawe yali musa- jja mulimi. Atalaaze amawanga 192, ng’atambula bw’omu mu kanyonyi ke akatono,nga kino akikola lwa kwagala ggwanga lye limanyike mu nsi yonna. Yawayizzaamu ne Ggwanga ku nsonga eyamugenyiwazzaako mu Uganda. James Berisha agamba nti mu buto bwe yalina jjajjaw e eyalinanga ennimi- ro ennene ddala, naye bwe yabeeranga mu nnimiro eno,yateranga okutunuu- lira ennyonyi ezaayitanga mu bbanga, era bw’atyo n’akula ng’ayagala nnyo ennyonyi. Ku myaka 16 yava mu Ko- sovo n’agenda mu ggwanga lya Swit- zerland gye yatandika okumeggana n’emisomo gye . Ku myaka 23, yali amaze okutuukiri- za ekirooto kye eky’okufuuka omugoba w’ennyonyi.Era bw’atyo akolera eki- tongole ky’ennyonyi ekya Sierra West Airlines ekya America. Agamba mu kiseera kino ali mu kaweefube gwe yatuuma ,’’Fly- ing for Kosovo’’ aluubirira kulaba ng’amawanga gonna mu nsi gamanya nti Kosovo nsi eyeetongodde era eyafu- na obwetwaze bw’ayo. Ensonga enkulu eyamuleese mu Uganda gwe mwoyo gw’alina eri ensi ye, ayagala wabeewo enkolagana wakati wa gavumenti ya Uganda ne Kosovo, kuba mu kiseera kino tewali nkolagana yona wakati wa mawanga gombiriri gano. Amawanga ga Bulaaya 55 gaamala okutongoza eggwanga lya Kosovo nga eggwanga eryetongodde. Berisha wa kutalaaga amawanga agasoba mu 192, ng’abunyisa enjiri eno.Agenda mu ezo ensi ezitavangayo kulaga nti Kosovo ggwanga eryeton- godde.Ku lukalu lwa Africa abaddeko mu Seychelles,Tanzania,Burundi,Rwa nda,Madagascar,Malawi, Zimbabwe, n’awalala. Agamba nti asanze ebizibu bingi dda- la omuli;ennyonyo ye okubeera nga eg- enda efuna ebizibu ,okufuna visa oba olukusa okugenda mu nsi ez’enjawulo si kyangu,alina okugemwa endwadde ezitali zimu mu mawanga mw’ayita, ng’ate eddagala liri ku nsimbi nnyingi ddala. Mu Africa amawanga agasinga te- gaagala nnyonyi ntono,yagasseeko nti ekitongole ky’ennyonyi Entebbe kya- muwadde ekiseera ekizibu okugwa ku kisaawe. Alina omukyala n’abaana babiri, ki- taawe yattibwa Abaserb,naye nnyina akyaliwo mulamu,alina baganda be abalenzi babiri n’omuwala omu. Bwe yavudde wano yayolekedde ggwanga lya Kenya. Eggwanga lya Kosovo lisangibwa Bukiikaddyo bw’eggwanga Serbia,mu Bukiikakkono bw’eggwanga Macedonia,ne Montenegro mu Bug- wanjuba. Eggwanga lino lyafuna obwetwaze oluvannyuma lw’omwaka 1987. Omukulembeze Milosoevic ng’azze mu buyinza, yakijjanya nnyo abat- uuze ba Kosovo, era yeewerera nga bw’agenda okubatta okubamalawo singa tebava mu gggwanga lya Serbia. NATO yayingira mu nsonga zino, are bw’etyo n’ezigonjoola. Eggwanga lya Kosovo lyataagulwa nnyo olutalo ol- waliwo ne Yugoslavia, wakati wa 1998 ne 1999 James Berisha (wagulu) Enyonyi mwatambulira(wansi)
1

Wunno Mwoyogwaggwanga atalaze amawanga 192 · 19/05/2011  · bwe yalina jjajjaw e eyalinanga ennimi-ro ennene ddala, naye bwe yabeeranga mu nnimiro eno,yateranga okutunuu-lira ennyonyi

Sep 25, 2020

Download

Documents

dariahiddleston
Welcome message from author
This document is posted to help you gain knowledge. Please leave a comment to let me know what you think about it! Share it to your friends and learn new things together.
Transcript
Page 1: Wunno Mwoyogwaggwanga atalaze amawanga 192 · 19/05/2011  · bwe yalina jjajjaw e eyalinanga ennimi-ro ennene ddala, naye bwe yabeeranga mu nnimiro eno,yateranga okutunuu-lira ennyonyi

GGWANGA | Lwakuna 12 Muzigo / May - Lwakusatu 18, Muzigo / May 2011 Om. 19

EMBEERA Z’ABANTUOmuko 19 | Lwakuna 12 Muzigo / May - Lwakusatu 18, Muzigo / May 2011 GGWANGA

Wunno Mwoyogwaggwanga atalaze amawanga 192

Event photography wedding introduction commercial studio photographycommunication design conceptual development graphics design advertising

P.O. Box 72276 Kampala - Uganda, Plot 27 Sir Apollo Kagwa Road opposite Global Trust Bank , Tel: 0701884320

www.lavishmediaug.com

Bya Alex Lubwama

James Berisha musajja nzaalwa ya ggwanga lya Kosovo,yazaalibwa mu kitundu kye Brestovc, Ko-

sovo mu 1972.Kitaawe yali musa-jja mulimi. Atalaaze amawanga 192, ng’atambula bw’omu mu kanyonyi ke akatono,nga kino akikola lwa kwagala ggwanga lye limanyike mu nsi yonna.Yawayizzaamu ne Ggwanga ku nsonga eyamugenyiwazzaako mu Uganda.

James Berisha agamba nti mu buto bwe yalina jjajjaw e eyalinanga ennimi-ro ennene ddala, naye bwe yabeeranga mu nnimiro eno,yateranga okutunuu-lira ennyonyi ezaayitanga mu bbanga, era bw’atyo n’akula ng’ayagala nnyo ennyonyi. Ku myaka 16 yava mu Ko-sovo n’agenda mu ggwanga lya Swit-zerland gye yatandika okumeggana n’emisomo gye .

Ku myaka 23, yali amaze okutuukiri-za ekirooto kye eky’okufuuka omugoba w’ennyonyi.Era bw’atyo akolera eki-tongole ky’ennyonyi ekya Sierra West Airlines ekya America.

Agamba mu kiseera kino ali mu kaweefube gwe yatuuma ,’’Fly-ing for Kosovo’’ aluubirira kulaba ng’amawanga gonna mu nsi gamanya nti Kosovo nsi eyeetongodde era eyafu-na obwetwaze bw’ayo. Ensonga enkulu eyamuleese mu Uganda gwe mwoyo gw’alina eri ensi ye, ayagala wabeewo enkolagana wakati wa gavumenti ya Uganda ne Kosovo, kuba mu kiseera kino tewali nkolagana yona wakati wa mawanga gombiriri gano.

Amawanga ga Bulaaya 55 gaamala okutongoza eggwanga lya Kosovo nga eggwanga eryetongodde.

Berisha wa kutalaaga amawanga agasoba mu 192, ng’abunyisa enjiri eno.Agenda mu ezo ensi ezitavangayo kulaga nti Kosovo ggwanga eryeton-godde.Ku lukalu lwa Africa abaddeko mu Seychelles,Tanzania,Burundi,Rwanda,Madagascar,Malawi,

Zimbabwe, n’awalala.Agamba nti asanze ebizibu bingi dda-

la omuli;ennyonyo ye okubeera nga eg-enda efuna ebizibu ,okufuna visa oba olukusa okugenda mu nsi ez’enjawulo si kyangu,alina okugemwa endwadde

ezitali zimu mu mawanga mw’ayita, ng’ate eddagala liri ku nsimbi nnyingi ddala.

Mu Africa amawanga agasinga te-gaagala nnyonyi ntono,yagasseeko nti ekitongole ky’ennyonyi Entebbe kya-muwadde ekiseera ekizibu okugwa ku kisaawe.

Alina omukyala n’abaana babiri, ki-taawe yattibwa Abaserb,naye nnyina akyaliwo mulamu,alina baganda be abalenzi babiri n’omuwala omu.

Bwe yavudde wano yayolekedde ggwanga lya Kenya.

Eggwanga lya Kosovo lisangibwa Bukiikaddyo bw’eggwanga Serbia,mu Bukiikakkono bw’eggwanga Macedonia,ne Montenegro mu Bug-wanjuba.

Eggwanga lino lyafuna obwetwaze oluvannyuma lw’omwaka 1987. Omukulembeze Milosoevic ng’azze mu buyinza, yakijjanya nnyo abat-uuze ba Kosovo, era yeewerera nga bw’agenda okubatta okubamalawo

singa tebava mu gggwanga lya Serbia.NATO yayingira mu nsonga zino, are bw’etyo n’ezigonjoola. Eggwanga lya Kosovo lyataagulwa nnyo olutalo ol-waliwo ne Yugoslavia, wakati wa 1998 ne 1999

James Berisha (wagulu) Enyonyi mwatambulira(wansi)