OKWOGERA KWA KATIKKIRO MU LUKIIKO LWA BUGANDANGA 11 MUZIGO,
2015I. OKULAMUSA ABAGENYI MU BITI BYABWE.Nnyaniriza abakiise
bOlukiiko mu lutuula luno olukomekkerezza omwaka gwaffe ogw'okubiri
okuva Ssaabasajja Kabaka lweyasiima nannonda okumulamulirako
Obuganda nga 12 Muzigo 2013. Ku lwa Kkaabineeti yonna wamu ne ku
lwange, nneebaza Katonda atubeedde n'atutambuza olugendo luno
olw'emyaka ebiri era mmanyi akyatubeera. Abagenyi baffe abalala
abazze mu Lukiiko luno mwenna mbaanirizaSsaabasajja Kabaka gyali mu
Lubiri lwe, ateredde ntende alamula. Tumukulisaayo mu kulambula
Essaza lye ery'e Buluuli sabbiiti ewedde okuviira ddala nga 1 - 2
Muzigo 2015 era tusiima Bannabuluuli olw'ennyaniriza ennungi ate
ey'ekitiibwa.II. Amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 60Nga 13/4/2015
twakuza amazaalibwa g'Omutanda era emikolo gyagenda bulungi nga
gyali wano ku Mbuga enkulu , Bulange, Mmengo. Tuyoozayooza
Ssaabasajja okutuuka ku Mazaalibwa ge ag'emyaka 60 era twebaza
Nnamugereka olw'ekirabo eky'obulamu.iii. Okusaasira Abafunye
ebizibu:Eyali Supreme Mufti, Sheikh Zubairi Kayongo yafa era
n'azikibwa e Kiboga. Mufti oyo twali naye wano ku mukolo
gw'amazaalibwa g'Omutanda. Eyaliko Omukuumi wa Kabaka, (ADC) ,
Katende yafa era n'aziikibwa mu mwezi ogw'okusatu 2015. Abakungu ba
Ssaabasajja abalala basatu baafiiriddwako abantu baabwe:
Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka, Omutaka Kayiira Gaajuule,
yafiirwa kitaawe; munnamawulire Sam Dick Kasolo yafiirwa mutabaniwe
abadde abeera mu Bungereza,(omulambo gusuubirwa okutuuka sabbiiti
eno); ssenkulu wa Kabaka Foundation Edward Kaggwa Ndagala, yafiirwa
maama we; nnankulu wa Nnamulondo Investments, Lillian Kaddu, naye
yafiirwa Maama we. Tubasaasidde nnyo bannaffe era tusaba Mukama
Katonda abagumye era abayise mu kaseera kano akazibu.Ate nga Uganda
twafiiriddwa Ivan Kyayonka, abadde ssentebe wa bboodi ya NSSF.
tusaba Katonda agumye abantu be.Omuwanika wa Buganda, Owek. Nagawa
Mukasa naye yalongoosebwa evviivi gyebuvuddeko. Kati agenda abeera
bulungi.IV. ENNYANJULA. Nga tumaze okukwasibwa obuvunaanyizibwa
twatandika okukubaganya ebirowooozo ku ngeri gye tunaatambuzaamu
emirimu.Nnatuuza enkiiko za Kkabineeti ezenjawulo, mwetwayita
nabakulira ebitongole byaffe tusalire wamu amagezi ku nsonga enkulu
ze twali tusaana okusimbako amannyo mu ddimu lyokuzza Buganda ku
ntikko.Twagenda ne mu lusirika, era nalwo lwetabwamu abakulira
ebitongole ne bboodi ezitali zimu tusobole okukkaanya ku nsonga
enkulu ze twalina okusoosowaza.Twasooka ne tulambika ebiruubirirwa
nebyetaago bya Buganda; bwe tutyo twabiwumbawumba mu Nsonga
Ssemasonga Ettaano.Twasoosowaza ensonga nnya(4) nga tuzisimbuliza
mu Nsonga Ssemasonga Ettaano:- Okunyweza, okukuuma nokutaasa
Nnamulondo; Okumaliriza Amasiro ge Kasubi nage Wamala; Okumaliriza
Ennyumba Masengere; Okutereeza enzirukanya yemirimu.Mu nsonga
yOkutereeza Enzirukanya yEmirimu twajja nEnkola eyOmulembe Omuggya,
ngerimu Ennyingo nnya(4): Obuyiiya; Obwerufu; Obunyiikivu;
nOkwagala. Bwe tutyo twakkaanya ku nteekateeka Nnamutaayiika
eyemyaka etaano (2014 - 2018), nga yeesigamiziddwa ku ebyo bye
twasoosowaza.Mu byo mulimu ebyenjigiriza (nga essira tulissa ku
masomero/emisomo gyemikono); ebyobulamu (ngessira tulissa ku
bujjanjabi obusookerwako, okwetangira endwadde, obujjanjabi
obwekikungo[ensiisira zobulamu], namalwaliro amatonotono);
okuzzaawo ensuku nemmwanyi (ngessira tulissa ku kugaba endokwa);
ate nokukuuma obutonde bwensi.Mu nteekateeka Nnamutaayiika,
ekyokukuuma, okutaasa nokunyweza Nnamulondo kyo kyalubeerera era
tekirina bbanga ggere. Ate Ensonga yAmasiro; Masenger nokutereeza
enzirukanya yemirimu, ebyo twabissaako nsakesale wa myaka ebiri -
kati gyetumazeeko.Kitaffe, Ssaabasajja bweyali aggulawo Olutuula
lwOlukiiko lwa Buganda nga 12 Muwakanya, 2013 yasiima enteeka eyo
gyetwali tulangiridde. Ate bwe yali aggulawo Olutuula lwOlukiiko
nga 18 Muwakanya, 2014 yatugamba tujje ebirowoozo mu mpapula
tubizze mu bikolwa.Awonno nga tusemberera okumalako omwaka
ogwolutuula lwOlukiiko kati tulina okuwoza olutabaalo, nga
tutunuulira ebyo byetwewa okukola nokulaba we tubituusizza mu myaka
ebiri egyobukulembeze buno obwatukwasibwa.Bwennamaze okutuula ne
bannange bwetutambuza emirimu gya Buganda twasazeewo nti Olukiiko
olukulembera okusoma nokuteesa Embalirira (Budget), era nga lwelwo
olusemberedde omwaka ogwa Ddamula, gube gwa kuwa kifanaanyi ku
mirimu nembeera bweba eri mu Bwakabaka.Kaakati lwe Lukiiko luno.
Ngenda kuyita mu ebyo ebituukiddwako; ate ne bikyatusoomooza.
Oluvannyuma nja kubabuulira kye tuzzaako mu kaweefube ono gwe
tuliko owEttoffaali.V. EBISOBODDE OKUKOLEBWA MU MYAKA
EBIRI:Munzikirize nnambikire Olukiiko luno n'eri Obuganda bwonna
ebituukiddwako nga tuyita mu Minisitule ez'enjawulo.A. Okuva mu
Minisitule ey'Omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita w'Ensonga
za Buganda ebweru.1. Abantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda
baluamiziddwa ku nsonga ezigenda mu maaso mu Buganda era
amakkakkalabizo ag'enjawulo gaguddwawo e Busoga, Bugisu ne Busia.
Mu makakkalabizo gano abantu ba Nnyinimu abatudde mu bitundi ebyo
basobola okufuniramu amawulire agafa embuga nebiwandiiko ebitongole
ate ebikulu.2. Minisitule eno yateekawo enkola ekubiriza abantu ba
Buganda abali ebweru okuba obumu ate nokukwana emikwano egy'omugaso
eyo gye bali.gyebali. Enkola eno ya mugaso era twalaba nobukulu
bwayo bwetwakyalako mu mu Ankole, Busoga, Bukedi ne Bugisu.
Twabatikkula nEttooffaali lya bukadde obwasoba mu 180 bonna wamu,
mu bitundu ebyo. Ate ebweru wa Uganda (Bungereza, Swideni, Kkanada
nAmerika) enkolagana nobwasseruganda byatusobozesa okutikkula
obukadde 435. Ku ezo obukadde 235 twabulekera abomu Amerika
(Boston) zigende ku kugula eddwaliro-mutambuze (Mobile Van Clinic)
erinaayamba mu bujjanjabi bwekikungo/ensiisira zobulamu. Abantu ba
Beene baatusuubizza okugitukwasa bwetunaaba tubakyalidde mu
sabbiiti nga bbiri okuva kati.3.Ssaabasajja Kabaka yalonda ababaka
be abakulira abantu be abasangibwa mu Amerika; Bungereza; Swideni;
Kkanada; South Africa ne Swaziland. Mu Amerika ne Kkanada
baatonzeewo nolukiiko ttabamiruka olubagatta olwatuumiddwa Buganda
Bumu North American Convention [BBNAC]. Okuva nga 19 Muzigo 2015,
nja kubeera mu Los Angels ne Boston okuggulawo olukuana luno, era
lwe lukiiko olutongolelugatta abantu ba Ssaabasajja bonna mu Canada
ne Amerika. Ababaka be South Africa ne Swaziland baakutongonzebwa
mu mwezi ogwa Muwakanya 2015.Ababaka abebweru baakoleddwa ennambika
yentambuza yemirimu gyabwe; omuli okuba nobukiiko; ababayambako;
okutuuza enkiiko nokuwa alipoota buli luvannyuma lwekiseera
ekigere.Abantu ba Ssemunywa abali ebweru baatusaba tubakolere
enteekateeka y'omukutu gwa bbanka eyomutimbagano (Internet Banking)
naye wabaddewo akasoobo okumaliriza enteekateeka eno. Bweneggwa
tusuubira nti ejja kusobozesa bannaffe abo nabo okwenyigira mu
kkatala lyokuzimba Buganda nga bagula satifikeeti nebirala, nga
bayita ku mutimbagano.Nga bwe mumanyi bazzukulu ba Nnambi bangi
abasangibwa mu Ankole (e Bunyaruguru) ate nabalala bali mu bitundu
ebirala nne Lango (Lira). Kyokka ne mu nsi za Bulaaya endala gye
bali. Enteekateeka ekolebwa nabo basobole okumanya ebifa embuga ne
mu Buganda buli lwe baba bakyetaaze.B. Minisitule y'Obuwangwa,
Ennono, Amasiro n'Obulambuzi:Omulimu gw'okuzzaawo
Muzibwazaalampanga gugenda mu maaso era nga mu kiseera kino
okusereka n'okuwunda ennyumba kye kigenda mu maaso. Bbuggwe
w'Amasiro yaggwa dda era n'ayooyotebwa bulungi n'emmuli. Ennyumba
endala eziri mu Masiro nazo zaalongoosebwa era n'omulimu
gwamasannyalaze gamaanyi genjubaa (solar power) gwaggwa. Gusuubirwa
okukwasibwa Katikkiro ku Lwokubiri nga 13 /5/2015.Tuli ku mulimu
gwokuzimba ttanka ya mazzi eyomuttaka ya lita 200,0000. Guno
omulimu teguliiko buzibu, okujjako ensimbi. Ssaabasajja yasiima
n'alonda Bboodi y'Ennono n'Obulambuzi netongozebwa nga 21/3/2014,
okukuuma, okuyoyoota, okukulaakulanya, n'okutumbula ebifo
eby'obulambuzi wonna mu Buganda era Ssentebe wa Bboodi eno ye Dr.
Gladys Nalubowa Kalema Zikusooka. Ssenkulu waayo ye Christopher
Ssebuliba.Nsuubira okufuna alipoota okuva ewa Minisita agitwala,
Owek.Rita Namyala Kisitu, tusobole okutegeera bwebakanyemu
nemirimu.Amasiro g'e Wamala gasemberedde okuggwa nga wetwogerera
ennyumba Batanda-Beezaala eri mutendera ogwokuwundibwa munda.
Obuzibu obuliwo buli nti okuwunda nokunaaza Batanda-Bezaala
kwetaagisa kumpi obukadde 200. Kyokka kya ssanyu okulaba nti
Ssekabaka Ssuuna II enkuba eno ennyingi ettonnya temutuukako
nakamu.Ennyanja ya Kabaka: Ssaabasajja yasiima n'alonda akakiiko
nga kakulemberwa Kenneth Ssemwogerere(PhD) ne katongonzebwa nga
10/10/2014. Omulimu gwako kwali okwekenneenya engeri gyetusobola
okutaasa ennyanja eno ereme kusaanawo olwengeri gyetyobolwamu kati,
ate nga kino kitutte ebbanga ddene nnyo. Akakiiko kano kaaweebwa
emyezi mukaaga (6) era kaamaze okutuwa alipoota. Kkabineeti yamaze
okugiteesaako.Oluguudo Kabakanjagala
Katikkiro John Baptist Walusimbi yasaba KCCA okuddaabiriza
oluguudo luno.
Ate nze bwennasookaokusisinkana Nnankulu wa KCCA ne mmusaba
alusseeko amataala. KCCA yakwatagana ne Minisitule yaffe mu
nteekateeka zokuddaabiriza oluguudo. Kati lwaggwa; ettaala
zassibwako; ate okusimba emiti gya Kabakanjagala emipya
gyatongozebwa Cuucu nga 30 July 2013.
Nnyongera okukubiriza abantu bonna mu Mmengo nabayitamu okukuuma
emiti gino butiribiri; ate nobutabba mataala ku luguudo lwa
Nnyininsi luno. Enkulungo Nnantawetwa yawomemwamu omutwe Omuky.
Jennifer Musisi, ye ngomuntu, era nakungaanya mikwano gye ne
bakungaanya ensimbi ne yooyootebwa nga bwemugiraba. Nnantawetwa
yatukwasibwa nga 9 Kafuumuulampawu 2015. Wakyaliyo ebintu
byebagenda okussa ku nkulungo eyo era ennaku zino mulaba baddamu
okutwala omulimu mu maaso. Muky. Musisi yangumya nti ye ne banne
bajja kugumalira ddala. Sirema kwebaza KCCA ne Muky.Musisi
olwokufaayo ku bifo ebiggyayo ekitiibwa kya Buganda. Munajjukira
nti KCCA ye yazimba akabalaza aketoolodde Masengere. Ate era
nnabasaba Muky.Musisi KCCA etuuse kkoolaasi ku Lubiri e Bbanda
ngoyitidde e Ntinda, era ne bakikola. Nnamusabye asseko namataala.
Tulindiridde lwe ganaayaka! Meeya nolukiiko olufuga ekibuga kye
Kira nabo twabasaba balongoose oluguudo olutuuka ku Lubiri e Kireka
Basseeko namataala. Baasobola okuzimba emikutu egitwala amazzi ate
namataala baatandikira ku wankaaki. Tulindiridde lwe ganaatuuka
wansi oluguudo gye lutandikira. Ate Kaggo namagombolola ge
twamusaba okukola bulungi-bwa-nsi oluguudo oludde ewa Magulunnyondo
lubeere luyonjo.
Ebifo bino bikulu nnyo mu nnono zaffe, biraga ekitiibwa kya
Buganda era nkakasa tebiireme kutumbula bulambuzi. Muky.Jennifer
Musisi ne KCCA; Mw. Mamerito Mugerwa ne Kira Town Council; ate ne
Kaggo Patrick Mugumbule na bonna abakoze bulungi-bwa-nsi tetulema
kubasiimira ddala.
Njagala okubategeeza nti Omwoleso gw'eby'obulambuzi 2015,
gwakubeerayo okuva nga 23 - 30 Muwakanya. Tukunga abantu ba
Ssaabasajja bonna okujjumbira.
C. Wofiisi ya Sipiika
Olukiiko lwa Buganda lwaluamizibwa ku ngeri entuula z'Olukiiko
lwa Buganda gyezinaatuulangamu Omwaka gwonna era kalenda y'olukiiko
eyo yaweebwa buli mukiise. Tubasaba mugigoberere bulungi tusobole
okutambulira awamu.
Obukiiko bw'Olukiiko lwa Bugannda bwalondebwa era buli mukaaga.
Buli Kakiiko kaaweebwa obuvunaanyizibwa okuloondoola emirimu
egikolebwa ebitongole by'Obwakabaka eby'enjawulo.
Obukiiko buno buvunaanyizibwa okwanjula Alipoota y'ebizuuliddwa
mu Kaabineeti nezikubaganyizibwako ebirokwoozo ate oluvannyuma ne
zitwalibwa mu Lukiiko lwa Buganda, nga bwe kiba kyetaagisizza.
Munzikirize nneebaze Omukubiriza wOlukiiko nOmumyuka
olwokukulembera Olukiiko lwa Buganda luno Olukulu mu ngeri ennungi
ennyo kasookedde Maasomoogi abakwasa buvunaanyizibwa buno.
Enteereeza mu ntuula zOlukiiko nemirimu gyalwo nga bwetugirabye mu
myaka ebiri naye ebadde ya mulembe ddala.
Ate nneebaza nnyo abakiise bonna olwobujjumbize. Mu bbanga lye
mmaze mu Lukiiko luno ndowooza mu myaka ebiri egyakayita
mwensingidde okulaba obujjumbize bwabakiise obwamaanyi ddala.
D. Wofiisi ya Ssabawoloreza/ Gavumenti ezEbitundu:
Minisitule eno eri mu nteekateeka y'okuwandiisa ekkakkalabizo
lya Ssaabawolereza wa Buganda mu ggwandiisizo erifuga bannamateeka
mu Uganda. Kino twagala okukikola Woofiisi ya Ssaabawolereza efune
okwetongoze esobole okutambuza emirimu emingi ku ludda
olwObwakabaka. Wetwogerera twamaze okuwandiisizaamu munnamateeka
atuuliramu ddala, Twaha Mukasa. Awonno ebitongole byaffe
mbikubiriza okwewala okuyingira mu nteekateeka zonna ezirimu
amateeka nga tebyeyunidde woofiisi ya Ssaabawolereza. Twamaze dda
nokusaba Abamasaza okutuweereza amannya ga bannamateeka okuva mu
Masaza gaabwe abayinza okulondebwa nga abawolereza eyo wansi ku
masaza. Kino tulowooza kijja kuyamba amasaza ku nsonga ezikwata ku
mateeka ezigwawo mu masaza, ate mpozzi nokuyambako okugonjoola
endoliito ezitali zimu abantu ba Kabaka zebandyagadde okumalira mu
mbuga zabaami be. Ebitawuluzi bijja kutongozebwa ku Lunaku lwa
Gavumenti Ez'ebitundu nga 30/5/2015 e Kyaggwe.
Omulimo gw'okulonda bannamateeka mu wofiisi z'Amasazza gugenda
mu maaso ng'Amassaza 14 go gamaze okufunirwa Bannamateeka
abaddukanya ensonga z'Essaza ez'Amateeka. Okuwandiisa Abayima mu
bika nga bakolagana ne Kabaka Foundation: Twagala okuwandiisa
enkiiko zabayima mu bika byonna. Kino kijja kwongera okukuuma
ebyobugagga byebika ebyenjawulo. Tusaba obukulembeze bwebika byonna
mu Buganda okukolagana ne wofiisi ya Ssaabawolereza ate ne Kabaka
Foundation okulaba ngensonga eno ekomekkerezebwa bulungi. Gavumenti
Ez'ebitundu
Ekitongole kino mu Minisitule eno kiunaanyizibwa okulaba nti
Abaami ba Ssaabasajja bonna (Ab'Amasaza, Abamagombolola,
Ab'emiruka, Abatongole), batuukiriza obuvunaanyizizbwa bwabwe
kubanga ge maaso, amatu n'ebigere Gavumenti ya Ssaabasajja
kwetambulira
Ebituukiddwako:
-okukwananganya omulimo gw'okulonda abakulembeze b'ebitundu
naddala
Ab'amasaza n'aba magombolola bonna mu Buganda nga buli Ssaza
kati lirina
Ow'Essaza n'Omumyuka.
-Okuteekateeka Olusirika lw'Abamasaza e Nnono mu Busujju,
okubabangula ku
buvunanaanyizibwa n'enzirukanya y'emirimu mu mulembe
omuggya.
-Okuteekateka e misomo gy'obukulemebeze mu massaza; Busujju,
Mawokota,
Ssingo, Kyaggwe n'amalala.
-Enteekateeka ya Luwalo Lwaffe ey'okugula satifikeeti
eyatandikibwawo Minisitule
ng'eri wamu n'ekitongole kya Majestic Brands, eyambye
okuggumiza
obukulembeze bw'Abaami b'Amassaza.
-Minisitule yassaawo olukiiko olulondoola emirimu n'obukulembeze
mu Massaza ga
, n'ekigendererwa eky'okwongera amaanyi mu nzirukanya y'emirimu
eri
abaami ba Ssaabasajja.
-Minisitule era yassaawo okuvuganya mu Massaza era essaza
eryasinga
Ssaabasajja ajja kusiima okulilambula ku lunaku lwa Gavumenti
Ez'ebitunduu nga
30/5/2015. Omwaka guno Kyaggwe ye yawangula.
-Okubaga amateeka n'enkola eneruamya abaami mu nkola y'emirimu
gyabwe
n'ekigendererwa eky'okukomya enkola eyalabibwanga, nga buli
Mwami akola
nga bwalabye.
-Embuga z'Amassaza ne ggomolola ezimu ziddaabiriziddwa okugeza
Kyaggwe,
Mawogola n'amalala.
-Okukubiriza abaami ku mitendera egy'enjawulo okwennyigira
Obutereevu mu
nsonga z'okuzzaawo Amasiro ga Bassekabaka n'emu nteekateeka
zEttooffaali. Nneebaza bya nsusso omulimu ogukoleddwa Abamasaza,;
Amagombolola;
Emiruka nAbaami bonna ku nsonga zEttoffaali ne Luwalo
Lwaffe.
-Olukiiko Olukulu olutwala Abaami b'Amasaza nalwo lwalondebwa
nga lukulirwa
Kayima, Ow'Essaza lya Mawokota; omumyuka we ye Muteesa,
Omuwanika, ye Ssebwana ; Omuwandiisi ye Katambala; ate owa
Mawulire ye
Kaggo.
E. Omuwanika wa Buganda:
Eggwanika lyongedde okunyweza enkola eyokulaba nti lye lyokka
erukuanya ,
n'okukuuma ensiimbi zonna eziyingizibwa mu Bwakabaka okuva mu
mikutu
egyenjawulo.
Ensonga eno nkulu nnyo ddala. Ssente zonna eziyingira mu
Bwakabaka zirina
kukuumibwa Muwanika. Bwe wabaawo ekitongole ekyeterekera ensimbi
kirina kukikola ku buyinza obuba bukiweereddwa Omuwanika.
Awonno tewali muntu yenna oba kitongole kyonna kikkirizibwa ku
kungaanya nsimbi za Bwakabaka okujjako ngomuntu oyo oba ekitongole
ekyo kikkiriziddwa Omuwanika. Mu ngeri yeemu tewali muntu yenna oba
kitongole kyonna kikkirizibwa kusaasaanya nsimbi za Bwakabaka
okujjako nga omuntu oyo oba ekitongole ekyo kifunye olukusa
okuva
ewOmuwanika.
Eggwanika liwagidde enteekateeka z'enkulaakulana ezituukiddwako
Obwakabaka bwa Buganda ngokukola omulimu gwAmasiro, okuzimba
Olubiri lwa Namasole; okuzimbira
Omulangira Juma Katebe embuga nebirala.
Obuwagizi eri Minisitule zonna n'emirimu emirala.Minisitule
z'Obwakabaka zonna ziwagiddwa Eggwanika mu nzirukanya y'emirimu
gy'azo era buli kiseera eggwanika lwe lituukirirwa likola kyonna
ekisoboka okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo.
Okusasula Ensako - Emisaala / ensako y'abaweereza b'Obwakabaka
esasulwa bulungi era
Eggwanika lifuba okusasula mu budde. Abaweereza ba Kabaka
baaweebwa obujjanjabi mu
nkola ya yinsuwa y'eby'obulamu.
Eggwanika lyafuna omukozi avunaanyizibwa ku byensimbi; ng'ono
ayamba okwekenneenya n'okulondoola ensimbi eziyingira n'ezifuluma
mu Ggwanika. Omukozi ayitibwa Daudi Kikomeko. Omuwanika wa Buganda
asiimye nnyo bonna abawagidde entambuza y'emirimu nga bavujjirira
Obwakabaka okuyita mu Minisitule Ez'enjawulo.
F. Minisitule y'Ensonga z'Olukiiko, Kkaabineeti, Emirimu,
Amawule n'Okwogerera Obwakabaka.
Okuteekateeka enkiiko za Kaabineeti okuteesa ku nsonga enkulu mu
Buganda n'Olukiiko lwa Buganda okutwalira wamu. Olukiiko lwa
Baminisita lutuula biuli luvannyuma lwa sabbiiti bbiri. Abantu ba
Kabaka bafuna amawulire agafudde embuga buli ssaabiiti okuyita mu
pulogulaamu ey'oku leediyo CBS eya "Agafa e Mmengo".
Tubakubiriza okwongera okugigoberera okusobola okumanya
enteekateeka z'Obwakabaka bwezitambula. Okunoonyereza:
Bino bye bituukiddwako mu Kitongole kino:
-Minisitule esobodde okuteekawo ekuanyizo ly'ebitabo
w'ebimsomerwa (Library).
-Okuteekawoekifo awakuumirwa ebiwandiiko ebikulu naddala ebyedda
oba ebyenkizo.
-Minisitule ekuanyizza ebitabo eby'enjawulo ebikwata ku Buganda
n'ebirala byonna.
G. Minisitule ya Ssemateeka:
Enteeeseganya z'Ebyaffe zikyagenda mu maaso era omwaka oguwedde
Gavumenti yaddiza Obwakabaka bwa Buganda ebyapa ebiwererera ddala
212 . Omulimo gw'okubyekenneenya n'okutuuka ku nzikiriziganya ne
Gavumenti gukyagenda mu Maaso.
H. Minisitule y'Ettaka, Obulimi n'Obutonde :
Nga 24 Kafuumuulampawu,2015 natongoza BUCADEF eddiziddwa
obuggya, wano mu bimuli bya Bulange n'ekigendererwa eky'okutwala
enkulaakulana mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka nga nga tubawa amagezi
ku nnima ennungi, endokwa ennungi n'amagezi ag'ekikugu mu
by'okulima naddala mu bitundu eby'ebyalo.
BUCADEF ezziddwa obuggya eruubirira okusimbula nate ng'etumbula
eby'obulimi n'obulunzi eby'omulembe mu bantu ba Ssaabasajja,
okuggulawo emikisa gy'enkolagana nabavujjirizi, okusaasaanya
amawulire n'ebiwandiiko ebitongole ebikwata ku BUCADEF eziddwa
obuggya n'okuzzaawo ekifaananyi kya BUCADEF nga bwe kyali mu
Bwakabaka ne mu bantu ba Kabaka. Wetwogerera nga BUCADEF yakagaba
endokwa zemmwanyi ezikunukkiriza mu kakadde akalamba. Ebyembi, bwe
bakola bakolera mu kasirise Obuganda ne butamanya.Enkola eyo
mbasaba mugikyuse. Twalangirira enkola eyokusimba emiti ku mikolo
gyokwanjula. Omulenzi aleeta omuti; ate bwazaalibwa naye naweebwa
omuti gwazza mu bakadde. Enkola eno ekola kinnawadda era nsuubira
ejja kuyamba mu kukuuma obutonde bwensi.
Kyokka ku mikolo egimu omuko aleeta buleesi muti natalagwa
wakugusimba. Twagala omulenzi aba azze okuzaalibwa ye yennyini
asimbe omuti mu kifo ekiba kyategekeddwa, so si kuguwaayo buwi.
I. Minisitule y'Obusigansimbi Enteekateeka n'Okukulaakulanya
Eby'enfuna
Ekigendererwa kya Minisitule eno kwe kuzza obuggya enkola
z'Obwakabaka, okunoonyereza ebyo byonna ebyetaagisa , okuzuukusa
enkola essa mu bantu omwoyo gw'okukola n'okussaawo enkolagana
wakati wa Buganda namakampuni amatutumufu, ku mutindo gw'ensi
yonna, okusobozesa Minisitule okutuukiriza ebigendererwa byayo.
Minisitule erina enteekateeka okussaawo Olusirika buli mwaka
okwetegereza engeri emirimu gye giba gitambuddemu ate nokwetegereza
ebiba bitagenze bulungi n'okusala amagezi ku ngeri ki gyebiyiinza
okuteerezebwa.
Ebitongole by'Obwakabaka byonna ebivunaanyizibwa ku mulimu
gw'okutambuza enteekateeka zino bimaze okuzzibwa obuggya era
nebifuna ne zi bboodi empya okussa mu nkola ebigendererwa bya
Minisitule. BICUL-Pulojekiti ye Kigo(350)
Bannaffe Abachayina be tuli nabo mu mukago batandise okuzimba
amayumba aganalabirwako era ng'okusereka kuwedde. Aba BICUL bali mu
nteekateeka ya kutongoza pulojekiti eno mu mwezi gwa Kasambula.
Ndowooza enteekateeka ngeno ebeera nnungi okujjukirirako Amatikkira
ga Ssaabasajja.-Pulojekiti ye Makindye (350)
BICUL yafuna musigansimbi okuva mu Hong Kong era nga yatandika
okukola enteekateeka ku biki ebiyinza okuzimbibwaa mu kifo kino.
Tusuubira nti polojekiti eno bweneetambula obulungi eyinza
okukulaakulanya Makindye nga tuzimbako amayumba agomulembe. Ettaka
lye Kigo ne Makindye lya Nkuluze (Mayiro 350) naye BICUL, wansi wa
Minisitule yOkusiga Ensimbi ebadde nsaale mu nteekateeka zokunoonya
bannamikago betusuubira okulikulaakulanya. Manyidde ddala nti
Gavumenti ya Kabaka tereeme kutegeeragana ne Nkuluze ku nsonga
zenkulaakulana zino.-K2 Telcom
Enteekateeka zikolebwa okulongoosa enzirukanya ya Kkampuni eno.
Abatandisi ba Kkampuni baasaba Obwakabaka butwale obuvunaanyizibwa
obwenkomeredde ku nzirukanya ya Kampuni eno. Okusaba
kwekenneenyezebwa aba BICUL ne bakisemba ate nange ne nkituusa ewa
Mukama wange, Ssaabasajja era nasemba ekirowoozo ekyo.
Kampuni eno ekyali nto era yeetaaga Obuganda bwonna okwongera
okugiwagira esobole okudduka obulungi emisinde.
Abakozesa K2 beeyongedde emirundi 15% mu bbanga lya myezi nga
munaana egyakayita. Mwenna mukubirizibwa okugyettanira.
MAJESTIC BRANDS
Ebikoleddwa ekitongole kino: - Kino kyekitongole ekitukiikirira
buli lwe taagala okugunjaawo emikago
egyenkulaakulana. Buli muntu oba ekitongole kyObwakabaka
ekyagala okubaako
abantu/ ebitongole byekyagala okukolagana nabo/ nabyo okufuna
obuvujjirizi
oba obudduukirize tulina kweyambisa ekitongole kimu: MAJESTIC
BRANDS. Kino kikulu nnyo olwokwagala okwewala okuwubisa bannamikago
betunoonya. Twagala bonna bategeere nti mu Bwakabaka bwoba
owokukola nabwo emikago oyita mu
kitongole kimu kyokka ekyo.
-Enngoma Luwalo Lwaffe yatongozebwa.
-Satifikeeti empya yatongonzebwa
-Obubonero bw'emiziro obupya bwatongonzebwa
-Edduuka lyebiwundiddwa - Enteekateeka zEbika okukiika embuga
nettu. - Ekitongole kitandise okuddukanyizibwa ku musingi
ogwomulembe.
Nnamulondo
Ebikoleddwa mu Kitongole kino:
-Endabirira y'ebizimbe
-Obusolooza
-Obupangisa
-Ebizimbe ebirala
J. Minisitule y'Enkuluze:
Minisitule eno yevunaanyizibwa ne ku by'okwerinda: Ensonga
z'eby'okwerinda zitambudde bulungi mu myaka ebiri gyetumazeeko era
twebaza abo bonna abalafubanye okulaba nga tubeera n'eddembe nga
tuweereza Bbaffe. Tufunye obukuumi bwe twetaaga ebbanga lyonna era
ne mu mikolo gyonna Minisitule eno tetulekeredde.
K. Minisitule y'Obusuubuzi, Obutale n'Obwegassi
Minisitule eno ettadde mu nkola enkola eyayisibwa KKaabineeti
nga 22 Gatonnya 2015 eyitibwa Buganda Farmers Organization Policy
n'ekigendererwa eky'okwongera amaanyi mu bibiina by'abalimi
abeegassi mu Buganda
Ekigendererwa ky'enkola eno ekiraala kwe kutendeka abantu ba
Kabaka ku nnima y'omusingi ogw'obusuubuzi, okusitula omutindo,
okufuna obutale obw'awamu, okutereka n'okwewola, okugunjawo
emirimu, okukendeeza obwavu.
Okusobola okutuukiriza ebyo waggulu Minisitule eteekateeka
okukola bino wammanga:
Okutegeka emisomo egiwa abeegassi obukugu n'okubawabula ku ngeri
y'okukungula ekingi ng'ate kiri ku mutindo, n'okubamanyisa ensonga
ezikwata ku butale mu Buganda, Uganda n'ensi ezitwetoolodde.
Enkola eno yakusomesa Beegassi era kino Minisitule ekirambise
bulungi bweyatandika okulimira abeegassi mu Ssaza ly'e Bugerere
ng'ekozesa Tulakita.
Essira mu bwegassi ligenda kuteekebwa ku kulima emmwanyi, ensuku
n'okusimba emiti gy'ebibala ku nsalosalo z'ennimiro
L. Minisitule y'Abakyala ne Bulungibwansi
Abakyala ba Buganda baakungiddwa nnyo mu mbeera ez'enjawulo
naddala ez'okwekulaakulanya. Bino n'ebisingawo byonna
byateeseddwako mu Ttabamiruka w'Abakyala eyabaddewo nga 28/4/2015
ku Hotel Africana. Ttabamiruka ono ategekebwa buli mwaka okusomesa
abakyala eby'enkulaakulana nenneeyisa y'abakyala. Tusiima
Minisitule olw'enteekateeka eno ey'okusitula omutindo gw'Omukyala
mu Buganda.
Enteekateeka z'Ekisaakaate zijjumbiddwa nnyo Minisitule
y'abakyala ng'abakyala bakwasizaako Maama Nnabagereka mu kuzimba
n'okugunjula abaana ba Buganda ne Uganda.
Buli Nkomerero ya mwezi Ekitongole kikola Bulungibwansi
ow'Omuggundu mu Massaza ag'enjawulo n'okusomesa enkola ya
Bulungibwansi.
Abakyala basomeseddwa ku nzimba y'amaka amalungi nga mwotadde
enkulaakulakulana mu maka n'empisa ezobuntubulamu. Okulambula Kwa
Kabaka:
Ssaabasajja Kabaka asobodde okulambula Amasaza ge agawerera
ddala era ng'enteekateeka zonna zikolebwako Minisitule eno.
Omutanda alambudde Amasaza ge mu ddembe era atambudde bulungi
engendo ezenjawulo. Mu mwaka gwa Ddamula guno, Ssaabasajja
alambudde Amasaza ge 12.
M. Minisitule y'Eby'enjigiriza
Bino bye bituukiddwaako mu Minisitule eno mu bbanga ery'emyaka
ebiri:
Amasomero g'eby'emikono: Minisitule eno essa nnyo essira ku
masomo ag'eby'emikono.
Minisitule yatongoza Nnamutaayiika w'essomero lya Bbowa
Vocational S.S.S era nebatandika n'okuzimba ekizimbe ekibaririlwa
okumalawo obukadde 60,000,000.
Minisitule yakwasibwa ekizimbe, Kasawo Institute of Business and
Technical Education Namaliri, Kyaggwe, okuva mu World Vision, era
Minisitule ekola butaweera okulaba ng'eteekamu ebyetaagisa
okusobola okukituukana n'omulembe.
Buganda Royal Institute of Business and Technical Education - Ku
ttendekero lyaffe lino twazimbawo ekizimbe ekirala kya myaliiro 4
era kyaggulwawo Katikkiro nga 31/01/2015.
Lubiri Hish School Buloba Campus - Pulaani empya eraga nga bwe
ligenda okufaanana mu biseera ebijja yatongozebwa.
Ebigendererwa bya Kabaka Education Fund :
Mu bbanga ery'emyaka ebiri sikaala eziwerera ddala 1212 ku
mitendera gy'eby'enjigiriza gyonna, ze zigabiddwa.
Muteesa I Royal University: Yafuna Omumyuka wa Ssenkulu omuggya,
Prof.Arthur Sserwanga. Omumyuka wa Ssenkulu amaze okwetegereza
embeera eri mu ssettendekero ono ngamaze nokuwa alipoota. Tusuubira
nti mu kati ssettendekero ono atandikidde ddala okutambula, era
mumweyunire nga musomesezaayo abaana. Kati aweza abayizi 4500.
Ekivvulu ky'ennyimba, amazina n'emizannyo:. Ekitongolekino mu
bbanga ery'emyaka ebiri egiyise kibadde kitegeka ekivvulu kino mu
masomero ga pulayimale ne sekendule okuzuula ebitone by'abaana
baffe eby'enjawulo nga tuyita mu kuyimba , okuzannya emizannyo
n'amazina.
Buli mwaka tubeera n'omulamwa ogugoobererwa era ng'omwaka guno
omulamwa gu gamba nti "Tusoosoowaze ensonga Ssemasonga ezinazza
Buganda ku Ntikko. Entikko yekivvulu ekyomwaka guno ejja kubeera mu
Ssonde S.S.S. nga 27 Ssebaseka era Sssabasajja ku olwo alikwasa
abawanguzi engabo.
Ekibiina ky'Ebigezo bya Buganda ekiyitibwa (BECO) Buganda
Examination Council) kigenda mu maaso n'okutegeka ebigezo
by'okwegezaamu ku mitendera gwa pulayimale ne sinniya.
N. Minisitule y'Eby'obulamu
-Minisitule eno esobodde okunyweza entambuza y'emirimu mu
kitongole nga kati mu kitongole mulimu okubulembeze n'abaweereza
abalala.-Basobodde okutuusa obujjanjabi eri abantu ba Ssaabasajja
mu massaza agawerera ddala 15.-Bajjanjabe abantu abasukka mu
12,384.-Basomesezza abantu engeri y'okwewalamu endwadde
-Bataddewo enkolagana n'abantu, Kkampuni n'amalwaliro
ag'enjawulo.-Minisitule efunye ebifo ebiyiinza okuzimbibwamu
amalwariro ng'e Butambala, Buddu ne Buruuli.-Minisitule
yatongozezza akatabo akakwata ku by'obulamu akayitibwa "Buganda
Bulamu"era kasangibwa mu woffiisi za Minisitule wanio mu Bulange,
ku Wankaaki wa Bulange , ku Dduuka ly'eby'obulambuzi ne ku Mukwaya
General Hospital e Nsambya.-Mu myaka ebiri tubadde n'ennaku
z'eby'obulamu entongole mu Massaza ; Butambala, Buddu nga n'omwaka
guno olusiisira lwakubiddwa Buluuli okuva nga 28 April okutuuka nga
1 May.
O. Minisitule y'Abavubuka , Emizannyo n'Okwewummuza
Ekigendererwa kya Minisitule eno ekikulu kjwe kukumaakuma
abavubuka bonna mu Bwakabaka bwa Buganda, mu bibiina eby'enjawulo.
Minisitule eno mwe mugwa eby'emizannyo byonna n'okwewummuza.
- Minisitule eteeseteese ensirika z'abakulembeze mu bibiina
ebyenjawulo ng'essira liri ku kubabangula mu bukulembeze. Omwaka
guno zaatandika dda mu Masaza ag'enjawulo, nga Buddu, Mawokota ne
Ssingo. Waliwo enteekateeka z'okuzituusa mu Massaza ga Buganda
amalala.
-Okuyita mu lukiiko oluvunaanyizibwa okulondesa ebibiina
by'abavubuka eby'Obwakabaka okulondesa ebibiina by'abavubuka.
-Okulambula n'okwogerako n'abavubuka mu Massaza ag'enjawulo ne
mumatendekero mungeri y'okubazzaamu amaanyi.
-Okutereeza obukulembeze mu bibiina by'abavubuka nga tusitula
omutindo gwabyo, naddala Nkobazambogo.
-Minisitule eno esobodde okuyitimusa enkolagala n'Obwakabaka
obulala (Abavubuka ba Buganda baakyalako e Tooro ku mukolo
gw'abavubuka ate nabo ne batukyalira ku mukolo gwa Nkobazambogo).
-Okuteekateeka empaka z'eby'obuwangwa (Nkobazambogo Cultural Gala)
ne mu Buganda Youth Council (Gomba Cultural Gala). -Okutuuza
enkiiko zabakulembeze babavubuka nAbayima baabwe ate nokutegeka
emikolo gyabavubuka egyenjawulo.
-Okutegeka emizannyo ate nokuyingiza ssente mu Ggwanika lya
Buganda nga tuyita mu mizannyo, emisinde mubunabyalo, emipiira
gy'Amasaza negyebika.(Shs obukadde nga 300).
-Okulondo obukiiko obuyambako mu kuddukanya eby'emizannyo,
n'okussaawo enkola okutambuzibwa emizannyo mu Bwakabaka (Buganda
General sports Council, Buganda Sports policy, Buganda Football
Committee n'obukiiko obulala bujja kussibwawo mu bbanga eritali
lyewala.-Mu mwaka 2013, Minisitule yagunjawo SACCO eyitibwa
(Essuubilyo Zambogo Ssacco)okutereka n'okuwola ensimbi abavubuka ba
Buganda. Erina ba Mmemba 543 naye nga mu kiseera kino kye
twogerererako baweze 1982. Yatongonzebwa Ssaabasajja Kabaka nga
16/11/13 era eweza shs 261,123,250/- mu kittavvu.
VI. Ebikwata ku baweereza b'Obwakabaka.1.Ekitongole kya
Kalondoozi eky'Obwakabaka bwa Buganda kyatandika okukola nga kirimu
abaweereza babiri:
Omw. David Bunnaya Sserebe (Eyeebuzibwako[consultant]
n'Omw. Kalule Andrew( atuula mu kkakkalabizo)2.98% ku Minisitule
z'Obwakabaka ziwandikiddwamu abaweereza abasusula Eggwanika Lya
Buganda okusobola okutwala mu maaso emirimu.3.Ebyeyambisibwa mu
kukola emirimu emitongole bibeerawo.4.Enkola (Policies) ezirambika
enzirukanya y'emirimu egyenjawulo zikoleddwa era zitandise
okugobererwa (okugeza Human Resources Manual; Travel Allowances
Policy).
Endala zikolebwako omuli: FInance& Accounting Manual,
Volunteers policy.5.Abaweereza bonna balina endagamuntu entongole
era bamanyiddwa bulungi nebibakwatako. Buli mukozi yenna mu Bulange
twagala ayambale ndagamuntu mu bulago mu ssaawa
ezokukola.6.Okumanyisa ebikolebwa mu mpeereza y'emirimu: Baminisita
bajja kwogereranga Minisitule ze batwala ku Leediyo buli Lwakubiri
ku Ssaawa ttaano ezemisana.VII.Ebisoomooza:-Emisaala gikyali wansi
ate nga oluusi girwa;-Ebitongole ebimu tebinnaba kufuna bakugu
(technical people) okubitekeratekera olw'obufunda bw'ensawo
yEggwanika. Tetunnafuna nsimbi zisobola kusasula Baminisita, Abaami
nabalala tulyoke tukomye enkola eyobwannakyewa etatuganya
kutambulira ku misinde gye twagala. Amasiro gonna mu Buganda galina
okulongoosebwa. - Ekyalo kyebyobuwangwa e Kasubi nakyo
tekinnatandikibwako.VIII. OKULANGIRIRA ENTEEKATEEKA EDDAKO. Nga
mwenna bwemubadde mulaba, mmaze emyaka kati ebiri nga ntalaaga
Obuganda. Wamu ne bentera okubeera nabo tutuuse mu byalo; mu
miruka; mu magombolola, mu masaza. Tugenze ebweru wa Buganda ate
nebweru wa Uganda. Tuwulidde amaloboozi mangi. Tufunye ebirowoozo
bingi. Tufunye amabaluwa mangi. Twogedde nabantu nkumu. Tuwabuddwa;
era tuwulirizza. Buli gyetugenda mu Buganda nebweru abantu babadde
bangamba nti kati tuzzeeko eddwaliro; abandi nti tutandike ttivvi;
abalala nti bbanka ya Buganda. Waliyo nabangamba okutandika
amakampuni gobusuubuzi; abamu nti tuzimbe ebizimbe byobusuubuzi
(arcade). Nabangambye okwongera ku masomero getulina babaddeyo.
Ensonga zonna ezitugambiddw nkulu, era tuzaagala. Tuyina okufuba
okulaba nti tuziteekerateekera. Kyokka obukulembeze bukwetaagisa
bulijjo okusoosowazanga ensonga. Osoosowaza okusinziira ku
bwetaavu; okusinziira ku busobozi; okusinziira ku kabi akaba kalina
okwewalwa. Kyemuva mulaba nga twasoosowaza kukuuma, kunyweza
nokutaasa Nnamulondo. Ndowooza kya kwenyumirirzaamu kyamaanyi nnyo
nti Bukaajumbe yasobola okulambula Bugerere omwaka oguwedde; ate
omwaka guno nalambula Buluuli. Buganda eringa maka; singa ssemaka
abaako ekisenge ekimu mu nju ye mwatasobola kuyingira kiba
kitegeeza nti obuyinza bwe mu maka ge busebengerera. Nze ne
bennange bano twalowooza nti tulina okulaba nti Ssemaka atuuka mu
buli kanyomero ka Bwakabaka bwe era kino kisimbidde ddala mu Nsonga
ya Buganda Ssemasonga Esooka ate ne mu Nsonga Esooka mu ezo Ennya
ze twasoosowaza. Twazzaako ensonga yokumaliriza Amasiro ge Kasubi
nage Wamala. Wetwakatuuka nawo mulabawo.
Awo twazzaako Masengere twewonye obuswavu obwemyaka ana(ana),
anti ekizimbe kino kyatandikibwa mu 1975. Wewaawo ffe kyatuddira mu
1993, naye nemyaka 23 gimala okuswaza omuntu! Ate nga bwemuzze
muwulira ensonga eyokuna eyasoosowazibwa, eyokutereeze enzirukanya
yemirimu, mu Nkola eyOmulembe Omuggya, nayo mulabye bwe
tugitambulirako. Ndowooza awo wewavudde obwesige bwabantu ne bassa
mu ngalo zaffe kati obuwumbi obunaatera okuweera omunaana (8) bukya
tutandika kutikkula Ttoffaali mu Mutunda 2013. Nnina essuubi ddene
nti ebibala ebivuddemu mutandise okubiraba. Nga bwe mbagambye,
abantu batuwadde ebirowoozo bingi nnyo ddala ate ebikulu ennyo.
Kati nga ffe abakulembeze tulina okulaga abantu ekintu ekisaanidde
okukulembera ekirala. Ssaabasajja bwe yamala okusiima tusseeewo
akakiiko ku Nyanja ya Kabaka kaatuwa alipootaenzijuvu. Bswetwamala
okusoma ebigirimu ne tutya nnyo. Ennyanja eyo eri ku kyapa kya
yiika 49. Kyokka waetwogerera nga wasigaddewo yiika 28 zokka. Ku
zino yiika 22 ge mazzi; ate ettaka eritaliiko basenzeeko liweza
yiika 6 zokka. Okwetoloola ennyanja ettaka lyonna lizimbiddwako
amayumba. Bangi ku baazimba amayumba bayiwa kazambi ava mu biyigo
mu nnyanja; abalala amazzi ge banaabamu mu binaabiro
bagakuluggusiza mu nnyanja. Ettaka bwe lyali terinnazimbwako,
enkuba bwe yatonnyanga nga amazzi gayingira mu ttaka. Gaagendanga
okutuuka mu nnyanja nga gamaze okusengejjebwa. Wetwogerera, enkuba
bwetonnya amazzi gayita kungulu ne gakuluggusa ebisaaniko; ebicupa;
ebigoye; ebiveera; ebikebekebe; ebipapulapapula na buli kalonda
naggwera mu nnyanja. Kirowoozebwa nti mu myaka kkumi oba kkumi
netaano Ennyanja ya Kabaka Mwanga II ejja kuba efuuse lutobazzi;
ate mu myaka 20 oba 30 efuuke ekisaalu emeremu nebitoogo kubanga
obuwanuvu bwayo bukendeere mmita nga 5 buli mwaka, olwebyo
ebigikuluggusizibwamu.
Kyessinnababuulira kiri nti kumpi nayo waliwo abakanikirawo
ebidduka nga woyiro bayiwa muli; abalala boolezaako ebidduka,
sabbuuni naggwera muli. Emmale ezabeeranga omwo zifudde ziweddewo.
Abemiremebe egirijja tulibagamba nti twali tutunudde ludda wa
ngennyanja eyasimibwa yokka nemikono ku Ssemazinga wa Afirika
eggwawo? Tuteekwa okutaasa Ennyanja ya Kabaka ku Mulembe guno
Omutebi. Tuyinza okubagamba nti twasooka ddwaliro, kubanga kkulu
nnyo; oba ttivvi; oba bbanka. Nandibadde eddwaliro kkulu, naye
waakiri abantu bayinza okugenda e Nsambya; oba e Kibuli; oba e
Mulago; oba e Mengo; oba e Lubaga. Ensimbi abantu bayinza okugira
nga batereka mu Centenary oba mu Post Bank oba mu Standard
Chartered. Ne ttivvi eziraga ebyaffe oluusi noluusi weeziri.
Naye Ennyanja bwesaanawo tunaddamu ne tusimisa endala? Omuganda
agamba nti : konoweeka tokalinda kusaaba ttaka. Twewale ennyanja
okumeramu ebitoogo; tugitaase; tujjukire obuyiiya bwa jjajja wa
Kabaka Mutebi. Bassebo ne bannyabo tutaase Ennyanja. Era eyo
gyetugenda okuzzaako. Akakiiko ketwassaawo katuwa alipoota, nga
bwennabagambye. Ebyokukola bingi, naye ebisookerwako bya mirundi
nga mukaaga: i) Okussa bbugwe okwetoloola Ennyanja; ii) okukugira
abayiwa emoitambi namazzi gebinaabiro mu Nnyanja; iii) Okugogola
Ennyanja; iv) Okuzibukula ensulo; v) Okusengejja mukoka aleme
kuyiika mu Nnyanja ne ntwala ye; vi) Okukolagana ne KCCA okutereeza
enguudo ezetoolodde nokuyita ku Nnyaja.
Twassizzaawo Akakiiko akagatta Olukiiko lwa Buganda Twezimbe
nAkakiiko akabadde ku gwokwekenneenya ensonga zEnnyanja. Kakulirwa
Fred Kiyimba Freeman, nga amyukibwa Kenneth Ssemwogerere nabantu
abalala. Bagenda kwetegereza omuwendo gwensimbi ogwetaagisa okukola
ebintu ebyo omukaaga. Era bajja nokwetegereza obukugu. Ennyanja
tujja kugitandika mu mwezi gwa muwakanya nga Masengere emaze
okuggwera ddala. Ebbanga lyetunaasalira abagenda okutaasa Ennyanja
ya Kabaka lijja kulangirirwa mu mwezi ogwo.
Ebirala ebinaakolebwa ku mutendera oguddako mulimu bino: i)
Okussaako ennimiro eziwummulirwamu nobukubo obwaseminti nobutebe
obutuulwako
okwetoloola ii)Okuzimbako wooteeri; iii) Okussaako ekirabo
kyemmere (floating restaurant) iv) Okussaako ekifo awabeera
emizannyo gyokumazzi (amaato) v) Okussaawo ekkuumiro lyebyennyanja
(aquarium) ku mutindo gwensi yonna. vi) Okussaako ekijjukizo kya
Ssekabaka Mwanga II.IX. OKUGUMYA OBUGANDA
Njagala okugumya Obuganda nti tulina enteekateeka gyetufumba
eyeddwaliro. Tulinanenteekateeka endala ku nsonga endala abantu ba
Buganda ze batuwaddeko ebirowoozo. Okuzzaako Ennyanja kivudde mu
bwetaavu bwokutangira akabi akEnnyanja eyo okusaanawo mu mulembe
gwaffe. Kino bwekituukawo tuliba tetukyasobola kugizzaawo.
Mutuwagire mu nteekateeka eno. Mutwesige nga bwemuzze mutwesiga,
tetugenda kubayiwa.X. Okwebaza:Njagala okwebaza Ssaabasajja Kabaka
olw'okunkwasa obuvunanayizibwa bw'okumukulemebererako Obuganda ate
nolwa Baminisita nAbaami beyampa. Nsiima Obuganda bwonna
olwokuwagirsa enteekateeka ze twayanjula nga tuluubirira okuzza
Buganda ku ntikko. Neebaza Baminisita, Abataka Abakulu bObusolya,
Abakiise b'Olukiiko lwa Buganda, Abamasaza n'abamyuka baabwe,
Olukiiko lwa Buganda Twezimbe olweddimu ly'okukukuaanya Ettoofaali.
Abakungu bonna n'abaweereza b'Obwakabaka mu bitongole byonna;
Abeby'okwerinda; bannamawulire na bonna abatukwasirizzaako ku ddimu
lino.Nneebaza abakulembeze ebemitendera egyenjawulo omuli
abakulembeze beddiini; bannabyabufuzi; abantu abakulu
abeebuuzibwako ebyensonga nabalala mwenna olw'ebirowoozo ebyamagezi
n'okuwabula byemutuwadde. Mbasuubiza nti nga tuli bumu, era nga
Katonda ye Mubeezi waffe, Buganda ejja kudda ku Ntikko.Mwebale
okumpuliriza, Katonda abakuume! Ssaabasajja Kabaka Awangaale....
ng'Enkumbi ku Bbega.
CHARLES PETER MAYIGA
KATIKKIRO
Omuko 38